Ebyobufuzi

KUTTA KAWEESI Lwaki ffamire ezeemu okutabukira Gvt ne securite

KUTTA KAWEESI Lwaki ffamire ezeemu okutabukira Gvt ne securite

 Ekyalipoota eyomunda erimu abantu abatuufu abagambibwa okwenyigira mu kutta omugenzi Andrew Felix Kaweesi okugaana okufulumizibwa kyongedde okutabula aba ffamire , securite ne Gavumenti.

Waliwo ebigambibwa nti abantu abatta Kaweesi abatuufu bamanyikiddwa kyokka waliwo ababazibira.

Mungeri yeemu waliwo endowooza nti waliwo ensonga enekusifu eyasissa Kaweesi era abantu be neggwanga lyonna gye beetaaga okumanyisibwa nti kyokka bino byonna bizibirwa .

Bino nebikankana ebirala bingi byayogeddwa mu kusabira omwoyo gwomugenzi Kaweesi Kati awezezza emyaka etaano ngatiddwa mu bukambwe nobumalirivu obutabangawo bwe yasindirirwa amasasi agasoba mu 200 emisana ttuku ku njegoyeego za Kampala.

Omukolo guno ogubeera mu kifo weyazikibwa buli mwaka gubeerako Bannadiini, aba ffamile gattako aba seculite kyokka nga bano babeerayo ku lwabwe ngabantu era Gavumenti tekikirirwa.

Kaweesi yatibwa March 17, 2017 e Kulambiro ne dereevawe Godfrey Mambewa nomukuumi Kenneth Erau era ettemu eryalinga firimu lyali kumpi namakage.

Abazigu abaali bakozesa ddigi nya nga balina emmundu zabakomando baasindirira mmotoka ya Kaweesi amasasi okumala eddakika nga 30 ne basemberera nomulambo ne bagwongera ebyasi olwo ne babulawo nga tewali adduukiridde.

Ensonda oluvanyuma zaategeeza nti waliwo omunene eyasiba omuzimugwe ate namwandu wa Kaweesi naye kigambibwa nti Kati alina omunene gwafumbira.

Bwe baabadde mu kusabira omugenzi e Kitwekyanjovu mu Lwengo ku wikendi, baayombye nga bagamba nti lwaki lipoota eyakolebwa tevaayo.

” Tuli wano kubanga Kaweesi alina bingi bye yakola eri abantu neggwanga,“ Fr Richard Ntambaazi, akulira ekiggo kye  Katovu-Gavu bwe yagambye.

Kyokka mukyala Olivia Mugabe ku lwa ffamire yawanze omuliro olwa beekikwatako okutuulira lipoota erimu ebituufu ku batta omuntu wabwe.

Ate mukyala

Sarah Nkonge, omu ku baali bakwano bomugenzi yagambye nti amazima tegatuulurwa luliba olwo ebyama byonna ne byanjalwa ku meeza Katonda amanyi byonna bwalisalawo.

Oluvanyuma lwa Kaweesi okutibwa abantu abasoba mu 50 bakwatibwa kyokka abamu ne bagyibwako ne wasigalawo nga 23 .

Ne mu bano bagyamu abalala munaana ne bavunaanibwa mu kkooti enkulu ate abalala bavundira mu makkomera.

Abali mu kkooti enkulu kuliko  Abdulrashid Mbaziira, Hamza Higenyi, Shafiq Kasujja, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejjusa, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango, ne Yusuf Nyanzi.

Kyokka ku bano omunaana , abataano baayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Wabula waliwo ebigambibwa nti wadde abo bavunaanibwa naye wandibaawo abalala abaali mu kuttemula Kaweesi ababikirirwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top