Ebyobufuzi

Omulamuzi Kisaakye atutte Ssaabalamuzi mu kkooti

Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu  Esther Kitimbo Kisaakye  atutte Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo, omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ekitongole ekiramuzi, Pius Bigirimana mu kkooti etaputa Ssemateeka nga agamba nti bano bamutulugunya.

Mu musango guno, Kisaakye agamba nti okuva lwebava mu kalulu ka Vvaawompitewo aka 2021 mu musango gwa Robert Kyagulanyi Ssentamu mweyali awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ono atyoboddwa abantu abenjawulo.

Mu bano kuliko Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Pius Bigirimana nakulira abakozi mu kitongole kino Apophia Tumwine awamu nakulira abawandiisi ba kkooti Sarah Langa.

Omulamuzi Kisaakye agamba nti ekikolwa kya Ssaabalamuzi okumugaana okusoma ensala ye awamu n’okuggala kkooti nga bamulemesa okuyingirayo nokuwa bannamawulire ensala ye tekyali mu mateeka.

“Omuwaabi agamba nti ebikolwa by’omuvunaanwa asooka (Ssaabalamuzi Dollo) awamu nabakulu mukitongole ekiramuzi okufulumya ekiwandiiko eri bannamawulire nga bamuvunaana kwebyo ebyaliwo nga March, 18, 2021 ku kkooti ensukkulumu byali bikontana ne Ssemateeka,” Ekiwandiiko ekiraga empaaba bwekigamba.

Omulamuzi Kisaakye alumiriza nti Ssaabalamuzi Dollo, Pius Bigirimana bagaana okumuwa ssente z’obujjanjabi era nebatawa ddaala lyaliko kitiibwa byonna byagamba nti byali bikyamu.

“ Nga omuwaabi tamanyi era nga tewali muntu yenna avuddeyo kwemulugunya, ku nnaku z’omwezi nga  March, 20, 2021 abakakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi batandika okumunoonyerezaako kwebyo ebyaliwo wakati wa 18th  ne 19th March 2021 ku kkooti enkulu, ekivoola ssemateeka,” Ekiwandiiko kya kkooti bwekigambye.

Okusinziira ku Kisaakye ekikolwa kya Ssaabalamuzi okukuta nalagira akakiiko akagaba emirimu okunoonyerezaako kyali kimenya Ssemateeka.

Kisaakye agamba nti bano bamugaana okutwala oluwummula lwe olwa buli mwaka era baggyawo ensako ya ddereeva we n’omukuumi we.

Ono ategeezezza nti wadde bweyakoma okuva mu luwummula nga 27, June, 2022 yategeeza Ssaabalamuzi  nabakwatibwako nti akomyewo okukola bagenda mu maaso nokumuboola.

Kisaakye agamba nti bino byonna ebimukolebwako si nsobi naye abakulu mukitongole kino bagezaako okumubonereza olw’okukola ekyo ekimulagirwa mu mateeka ng’ awa ensala ye ku musango ogwali guwakanya obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni.

Omulamuzi Kisaakye kati ayagala kkooti etaputa ssemateeka eragirire nti ebikolwa bino byali bikyamu era ayagala emulambike ku nsonga z’ebyensimbi nezo ebitali za nsimbi asobole okufuna obwenkanya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top