Amawulire

Omusajja  akubye mune lwa kulya nkoko gy’aguze ate nga ye ali ku katogo ka byenda’.

Omusajja akwatidwa obusungu n’obuggya n’aggunda munne agakonde olw’okuba amulaba alya nkonko nga ye ali ku katogo ka byenda. Ndowooza bwavu oba oli awo nga maanyi ge gaba gamuwala!

Olw’okuba olina amaanyi mangi bw’onaaviira mu kkomera nga gakuwedde ate ng’obusungu bw’oyolesa kimanye nti busobola okukulesa ffamire yo nga neeyo enkoko gy’okubira abantu ogiresse olya kawunga na bijanjaalo bya Gavumenti !

Bino bibadde bigambo bya mulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo bw’abadde asindika omuvubuka Ivan Lubaale mu kkomera.

Joseph Lubaale 23, omutuuze wa Mbuubi Zzooni e Lungujja mu Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli n’avunaanibwa ogw’okukuba Muzeeyi Sebaleke 50, n’amutuusaako obuvune obw’amaanyi.

Bino byaliwo nga May 10, 2023 mu bitundu by’e Lungujja ku ssaawa 3:00 ez’ekiro.

Ssebaleke ategeezezza kkooti nti, omuvubuka oyo, yamusanga agula nkoko kwe kumubuuza nti “ggwe egyo emyaka gyo girya gitya enkoko nga nze ndya byenda?”

Agamba nti yamuddamu nti ate oba nnina ssente naawe gula, n’amuddamu mu bukambwe nti ‘nsobola okukuba’ era yasitukirawo n’amupacca empi kw’ossa okumuggunda agakonde agaamukuula n’amannyo.

Ayongedde n’ategeeza omulamuzi nti, okumanya omuvubuka mujoozi, yagenda mu maaso n’ansindika mu nkoko ya bandi eyali efumbibwa n’egeddamu omusaayi era nze nagisasula .

Oweekitiibwa omulamuzi bw’ondabira wano sikyasobola na kugaaya bulungi nkyafuna bujjanjabi, Joseph bwe yategeezezza.

Lubaale bwe yabuuziddwa ebyaliwo n’agamba nti muzeeyi tamumanyi era tamulabangako, amuwaayiriza ye takubanga ku muntu yenna.

Omulamuzi Byarugaba yamutegeezezza nti oyo gw’otamanyi ojja kumutegeera, kirabika okyalina amalala ndowooza ekkomera lijja kuyambako okumutegeera era kimanye nti okukuba omuntu si kyakusaaga bw’atyo n’amusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga July 5, 2023 gutandike okuwulirwa.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top