Amawulire

Uganda eyongedde amagye e Somalia.

Abajaasi 1556 ab’e ggye lya UPDF basindikiddwa Somalia okukuuma emirembe.

Bano bagendedde mu kibinja ekya 37, bazze mu bigere by’ekibinja ekya 34 ekimazeeyo emyaka 2.

Bwabadde asimbula ekibinja ekya 37 ku bbanguliro lye UPDF erya peace support Operations Centre –Singo mu district ye Nakaseke, aduumira eggye ly’eggwanga Gen Wilson Mbadi alabudde abajaasi ku Mukenenya n’ekirwadde kya Covid 19.

Abagambye nti byandibeera eby’obulabe okusinga abajambula bebagenze okulwanyisa.

Gen Wilson Mbadi alagidde omuduumizi w’ekibinja ekisindikiddwa e Somalia Col Charles Asiimwe, okutereka ensimbi z’abaserikale mu kittavvu ky’amagye WAZALENDO, basobole okwekulaakulanya.

Mungeri yeemu Gen Mbadi asabye bannamagye bakole ekisoboka okusanyaawo abajambula ba Al-Shabab, kiwe bannansi ba Somalia omukisa okwekuumira ensi yabwe.

Omuduumizi w’eggye lyokuttaka Lt Gen Kayanja Muhanga asabye bannamagye okukuuma empisa n’Okukozesa  obukugu obusuffu balwaanyise abalabe, Somalia ebukalemu emirembe.

Ekibinja kino wekigendedde mu Somalia nga ababaka ku kakiiko ka parliament ak’ebyokwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga akaakulembeddwamu Rosemary Nyakikongoro ne minister omubeezi ow’abazirwanako Huda Abason babadde baakava e Somalia, okulaba embeera abajaasi mwebakolera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top