Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Bayine avuddeyo n’asambajja engambo eziyitingana ng’abasilekle b’amakomera bwe batulugunya abasibe abamu ne batuuka okuteebwa nga bafunye obuvune obwamanyi.
Wiiki ewedde spiika wa palamenti Rebbeca Kadaga yalagira akakiika ka palamenti akalwanirira eddembe ly’obuntu okugenda obunambiro mu kkomera lye Kitalya okunonyereza n’okusobola okuzuula ekituufu kunsonga eyo.
Kadaga okulagira bino kyavudde ku mubaka wa monicipaali ye Mityana Francis Zzake okutegeeza palamenti ng’abasilikale b’amakomera naddala mu kkomera lye Kitalya bwe bayitirizza okutulugunya abasibe. Ono yawadde eky’okulabirako ky’omubaka omulonde owa Kawempe South Muhammed Ssegirinya nga bwe yatulugunyizibwa ennyo mu kkomera lye kitalya gye yali aggaliddwa, nga kati yaddusiddwa mu dwaliro e Kenya okusobola okufuna obujanjabi obwenjawulo.
SSEKANOLYA bwe yatukiridde omwogezi w’amakomera Frank Bayine ku ssimu yatutegezezza nti, ‘’ffe ng’abamakomera, ababaka tubalinze era tugenda kubaniriza, tukyalinze bbaluwa ntongole okuva ewa spiika etutegeeza ng’akakiiko ka palamenti bwe kagenda okutukyalirako e kitalya, tetugenda kubateekako kakwakulizo konna ng’ebitongole ebirara bwe bizze bibayisa nga bagenzeyo’’, bwatyo Bayine bwe yategezezza.
Yayongedde nategeeza nti,’’mu kkomera lye Kitalya tulina abasibe emitwalo mukaaga, abasilikale baffe batendekebwa bulungi era bamanyi engeri y’okukwatamu abasibe, abo abagamba nti tutulugunya abasibe bagala kwonona kifanayi kya kitongole.