Abakuuma ddembe n’abo bantu nga mmwe abetaaga ekigambo kya Katonda kubanga ate okusingira dda mu mirimu gyebakola ate oba bebalina okukuuma banansi n’okuteekesa amateeka munkola.
Obubaka buno buweereddwa Provost wa Lutikko y’Omutukuvu Fiiripo ne Andereya eMukono, The Very Rev Canon Enosi Kitto Kagodo mukusaba kw’okwebaza Katonda ate olwa abakuuma ddembe mwebakungulidde amakungula gaabwe nga bakulembeddwa Eyali KMP Afande Kafeero Moses Kabugo ne DPC wa Mukono Division Police Station, SP Nyiramahororo Annabenah n’abasirikale kumitendera egy’enjawulo.
OC Fred Kato yakulembeddemu okubuulira mukusaba kuno era nga akutidde ebitongole ebikuuma ddembe okumanya nti katonda gy’ali era n’abasaba okukola ebyo ebisikirizza Katonda okubawa ebirungi era n’akubiriza banansi okufuba okutekawo enkolagana na balirwana babwe mubitundu gye babeera.
Mwogerako eri abakuuma ddembe n’abantu ba Katonda banno , Provost Kagodo agamba Abakuuma ddembe n’abo bantu nga mmwe abetaaga ekigambo kya Katonda kubanga ate okusingira dda mu mirimu gyebakola ate oba bebalina okukuuma banansi n’okuteekesa amateeka munkola.
Ye addumira Poliisi y’eMukono SP Anabella Nyinamahoro ategezeza abakristaayo nti buli musibe gwe balina mu kaduukulu kapolisi buli ku sande babajayo nebasinza Katonda saako n’okwebaza Katonda olw’Obulamu bwa abawadde.
Wabula ye akulira ettendekero lya Abasirikale e Bwebajja SCP Moses Kafeero Kabugo asabye bana Uganda okwenyigira ennyo mukusaba buli muntu mu nzikiriza ye ekiyambako okukendeza obumenyi bwa mateeka.