Amawulire

Bishop Ssemogerere yennyamidde olw’abantu abasaanyawo obutonde bw’ensi.

Ssaabasumba w’essaza Ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yennyamidde olw’abantu abasaanyawo obutonde bw’ensi n’abasaba okujjumbira okusimba emiti.

Bino abyogeredde ku mukolo ogw’okujjukira olunaku lwa Biikira Maria eyaggwa Munda nga taliiko kibi kisikire olukuzibwa buli 8 December, mu maka ga Bakateyamba e Nalukolongo ababikira bana ab’ekibiina ky’Omusamaliya omulungi kwebakubidde obweyamo  obw’olubeerera.

Abakubye ebirayiro kuliko Sr. M. Mourice Babirye okuva mu kigo kye Misiji mu ssaza lya Kiyinda Mityana, Sr. M. Mildred Abitegeka okuva mu  kigo kye Bujjumbura,Sr. M. Rose Nabulya okuva mu kigo kye Bukuumi,Sr M.Eveline Nakachwa okuva mu kigo kye  Bujuni mu ssaaza lye Hoima

Yagambye nti ekikolwa kino kivuddemu ebizibu eby’enjawulo okuli n’Endwadde eziva ku bujjama okweyongera mu bantu okuli ng’ekirwadde kya kkokoolo ekikabya abantu.

Ababikira abakubhye ebirayiro by’obubikira eby’oluberere nga bajjagaya oluvannyuma lwokulayira bano kuliko Sr.M. Mildred Ategeka,Sr.M.Mourice Babirye,Sr.M.Rose Nabulya ne Sr.M.Eveline Nabachwa

Ssemogerere yagambye nti kyewuunyisa okulaba nti n’abantu beetuloowoza nti babuvunaanyizibwa basinzira mu ma mmotoka gaabwe ne bamansa ebicupa ne kasasiro buli we basanze.

Yagambye nti okusaanyawo obutonde kivuddeko Endwadde okweyongera naddala mu biseera by’enkuba olw’abantu abalina omuze ogw’okuta kazambi n’akulutira mu bannaabwe kyokka ne badda mu kunenya KCCA olw’obutakola mulimu gwayo.

Yeebazizza ababiikira bano olw’okuwulira eddoboozi ly’Omukama era n’abakubiriza okwongera okwekwasa maama Maria n’okumwagala asobole okubakulembera mu kuyimba kwabwe.

Abasiimye olw’okukkiriza okuyitibwa nga balabira ku Biikira Maria era n’abakubiriza okunywerera ku biragaano bye bakubye , okukulembeza omutima ogw’okwagala abalala n’okubaweereza, okwegayirira, okwezza obujja ssaako okubeera n’essuubi, wamu n’okwagala okwannamaddala.

Yennyamidde olw’omululu ogususse mu bantu ne batuuka n’okukozesa amaanyi okutwala ebitali byabwe awatali kutaliza na ttaka ly’Eklezia.

Sr. Mildred Abitegeka ku lw’abagole yasabye bazadde baabwe n’abakristu okwongera okubasabira n’okumanya nti tebalina kye bafiiriddwa era n’asuubiza nga bwe beetegese okunywerera ku biragaano bye bakubye.

Sr. John Evangelist Mugisha yaloopedde Ssaabasumba Ssemogerere abantu abeesomye okwezza ettaka lyabwe ery’e Nalukolongo ne mu bitundu ebirala lye bakozesa okukuuma emmere ya bakateyamba.

Yeebazizza bonna ababaleze  n’ababagunjudde okutuuka ku lunaku luno n’okubalambika mu bibadde bitatambudde bulungi.

Ssaabasumba yayambiddwaako omusumba w’e Hoima Vincent Kirabo, Viika genero wa Kampala Msgr. Charles Kasibante, abasaseredooti, bannaddiini, bazadde b’abagole n’abakristu bonna.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top