Poliisi eri ku muyiggo gw’ekibinja kya bakifeesi abasoba mu 20 abaalumbye munnamaggye avunaanyizibwa ku bikwekweto mu ofiisi ya pulezidenti mu Kampala ne bamukuba n’afuna ebiwundu eby’amaanyi ebyamuviiriddeko okufa.
Sgt. Musa Ddumba 43, okugwa mu bakifeesi yali ava mu Masindi ne muwala we Fauzia Ddungu mu kiro ekyakeesa olusooka omwaka ne mikwano gye abalala basatu okuli; Farouk Nkanda eyali avuga , Cpl.David Kagame ne Muhamad Kalibbala.
Bano bakifeesi baabagwiramu Lugala -Lusaze mu munisipaali y’e Lubaga okuliraana limbo.
Muhamad Kalibbala, omu ku basimattuka n’ebisago ku mutwe n’omukono yategeezezza nti beekanga omuntu eyali yeebase mu luguudo wakati era olwamulaba Sgt. Ddumba n’alagira ddeereva waabwe okuyimirira. Olwali okuyimirira, abavubuka ababiri abali ebbali w’oluguudo ne babalumba, nga kaseera katono bano begattibwako ekibinja ky’abavubuka abali babagalidde emigo, emitayimbwa ne nnyondo okuva ku kasiko ne babakakkanako ne babakuba bubi nnyo n’okubanyagulula.
Kalibbala agamba nti baatandikira ku Sgt .Ddumba ne bamukuba omuggo ku mutwe n’agwa wansi kyokka omulala aba aleeta omuggo amwongere kwe kuteekayo omukonoera omuggo omulala gwakwata ye ku mutwe.
Bagezaako okulwanagana n’abayaaye era mu kwagala okubatiisa omu ku bbo yagamba Sgt. Ddumba okudda mu mmotoka aggyeyo emmundu, bakifeesi olwawulira ekyo ne bongera okukambuwala n’okukuba St.Ddumba .
Ono agamba nti Fauzia Ddumba, muwala wa Sgt.yagenda okusisimuka mu tulo nga kitaaawe ali wansi ataawa kyokka ekyabeewuunyisa ye Nkanda eyali avuga mmotoka yabalekawo mu kifo ky’okubataasa ne yeeyongerayo.
Cpl.David Kagame naye eyasimattuka agamba nti bino bigenda okubaawo nga ssaawa ziri mu 9:00 ogw’ekiro era omuzirakisa owa boda boda yey abayamba okuteeka munnaabwe ku boodabooda ne bamuddusa ku ddwaaliro lya Med Safe e Lungujja we baasooka okufuna obujjanjabi nga wano we bamuggya enkeera ku Ssande okumutwala e Mulago gye yafiiriidde mu kiro ekyakeesezza Lwokusatu oluvannyuma lw’okulongoosebwa omutwe.
Fauzia Ddumba, muwala w’omugenzi yategeezezza nti kitaawe okugenda e Masindi kyaddiridde okutabuka ne bba era bwe yajja ewa Kitaawe e Lungujja Kitunzi mu Factory Zone okumuteegeza ensonga yasalawo okufuna mikwano gye okumuwerekerako mu bakulu banne e Masindi boogere ku nsonga ezaali zibatabudde ne bba.
Agamba nti baasimbula ssaawa nga 8:00 nga December 31, okwolekera Masindi era olwamala okwogerezeganya n’okutuuka ku nzikiriziganya baasimbula okudda e Kampala kwe kugwa mu bakifeesi abaaviiriddeko kitaawe okufa.
Nnamwandu Hajara Nabayega yategeezezza nti bba yamusiibula bulungi era ng’amusuubira okudda kyokka kyamukanga nnyo bwe yafuna amawulire nti yakubiddwa abatemu.
Yagambye nti bba amulekedde bamulekwa abato okuli; owemyaka 4 n’owe myaka 2 n’ekitundu era n’asaba abakulu mu magye okumudduukirira.
Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti poliisi yatandise dda omuyiggo gw’ekibinja ky’abavubuka abasoba mu 20 abagambibwa okukola obulumbagany ku munnamagye ne banne ekyamuviiriddeko okufa oluvannyuma lw’okukubwa.
Yagasseeko nti omugenzi abadde muserikare avnaaanyizibwa ku bikwekweto mu ofiisi ya pulezidenti ng’ono abatemu baamukuba bwe yali agezaako okuyamba omuntu agambibwa okuba nti yali agudde mu luguudo gw’atategeera nti yali mu kabinja k’abatemu.