Amawulire

Ekkanisa ya Uganda yeyawudde ku kanisa ya England.

Ekkanisa ya Uganda erangiridde nti mu butongole yeyawudde era siyakugoberera  nteekateeka zonna ez’ekkanisa ya Bungereza, oluvanyuma lwekkanisa eyo okulangirira nti ekkirizza okugatta abagole ab’ekikula ekimu mu bufumbo obutukuvu.

Ssaabalabirizi Dr.Kazimba Mugalu abasinzidde mu maka g’obwassaabalabirizi e Namirembe n’agamba nti batandisrle n’okutema empenda ez’okwekutulira ddala ku kanisa eno ebeere nga tekyagiyinako kakwate.

Ssaabalabirizi agambye nti ekkanisa ya Uganda yakusigala ng’egoberera enjigiriza ya Baibuli, etakkiriza mukwano gwa ngeri eyo era nti siyakuddamu kugoberera nteekateeka ya kanisa ya Bungereza.

Anokoddeyo n’amawanga amalala okuli America, Brazil ne Canada gagambye nti nago ekkanisa ya Uganda tekyagayinako kakwate, oluvannyuma lw’okwesowolayo mu lwatu ekkanisa zaayo nezikkiriza okugatta abantu ab’ekikula ekimu mu bufumbo obutukuvu.

“nammwe bannauganda mwenna mbasaba ensimbi zireme kubamalamu, nsaba katonda atuyambe fenna twegatte tulwanyise ekibi. Ffe ng’ekkanisa ya church of Uganda n’abalabirizi bonna tugamba nti tunaaweerezanga Mukama” Ssaabalabirizi Kazimba

Ssaabalabirizi Kazimba agambye nti mu mwezi gwa April,2023 nti ng’abakulembeze mu kanisa mu mawanga ga Africa, bagenda kusisinkana mu ggwanga lya Rwanda, bongere okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo, eziyingiriddrle ekkanisa, n’okutema empenda okwongera okulwanyisa omuze gw’omukwano ogw’ebikukujju.

Mu nsisinkano y’abalabirizi b’ekanisa ya Bungereza olwa General Synod olwatudde mu Church house Central London olwetabiddwamu abalabirizi bonna  ekiteeso kino mwekyasaliddwawo.

Abalabirizi 250 bebaakiwagidde,  181 baakiwakanyizza ,  ate 10 bagaanye okulaga oludda lwebagwako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top