Olwaleero, Minisitule y’ebyensimbi lw’egenda okusoma embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2023/24.
Embalirira eno yayisibwa dda Palamenti nga ya buwumbi 52,730 nga Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija y’asoma embalirira eno ku lwa Mukama we (Pulezidenti Yoweri Museveni).
Ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo okusoma bajeti eno lwe kusuubirwa okutandika mu lutuula lwa Palamenti egenda okutuula mu kisaawe ky’ameefuga e Kololo mu Kampala.
Ebitonotono ku bajeti eno biraga nti ekitundu ekisinga obunene kigenda ku bweyamo bwa Gavumenti naddala ku kusasula amabanja kko n’emisaala gy’abakozi baayo.
Amabanja gokka gatutte obuwumbi 27,500 ekitegeeza nti enkola ey’emirimu eba esigazza obuwumbi 25,100.
Mu ngeri yeemu Pulezidenti Museveni akakasizza nga bw’agenda okwetaba mu nteekateeka y’okusoma embalirira newankubadde amaze ennaku musanvu n’ekirwadde kya Covid-19.
Mu bubaka bwe bwe yatadde ku mukutu gwa Twitter, Museveni yategeezezza nti newankubadde abasawo baamukebedde ne bamusanga ng’akyalimu obulwadde buno, awulira ng’akubye ku matu era asobola okweggya mu kalantiini mw’abadde kyokka nga yeewa ebbanga okuva awali abantu abalala.
Ono era mu kusooka yabadde ategeezezza nti waakubeerayo e Kololo nga yeewadde mmita 300, kyokka oluvannyuma amyuka akulira ebyamawulire mu ofiisi ya Pulezidenti, Faruk Kirunda yategeezezza nti Pulezidenti yasazeewo nti waakuwa okwogera kwe ku bajeti ng’ayita ku mutimbagano ng’akozesa omukutu gwa Zoom.