Embeera ku kitebe kya NUP e Kamwokya ebadde ya bunkenke nga baaniriza ebikonge okuva mu bibiina ebirala okuli DP, NRM ne FDC ebyasaze eddiiro okwegatta ku NUP.
Wakati mu bantu abaabadde bakwatiridde ekitebe ssaabakunzi w’ekibiina, Fred Nyanzi Ssentamu yategeezezza nti ekibiina kya NUP kya bantu bonna era buli ayagala waddembe okukyegattako.
Abamu ku banene abaasaze eddiiro kuliko; Hajji Wasswa Juma, abadde ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Kawempe era nga ye mumyuka wa minisita Jim Muhwezi ku nsonga z’abaazirwanako atwala Kampala eyazze ne banne okuva e Kawempe era nga bazze n’ebintu omuli emijoozi gya kyenvu, empapula wamu ne sitampu gy’abadde akozesa emirimu mu ofi isi ye nga Ssentebe wa NRM e Kawempe.
Abalala abaaseze eddiiro kuliko; Muhammad Mutazindwa ng’ono y’abadde ssentebe wa FDC mu ggombolola y’e Kawempe era nga naye yavuganyaako ku kifo ky’obwa Mmeeya bw’e Kawempe.
Alex Wekoola, abadde omuteesiteesi omukulu mu DP, mu disitulikiti y’e Buikwe era nga y’abadde amyuka omubaka Lulume Bayiga ku buwanika bw’ekibiina mu disitulikiti y’e Buikwe naye yeegasse ku NUP.
Joseph Ouma abadde omuteesiteesi omukulu mu kibiina kya NRM mu disitulikiti y’e Kayunga naye yeegasse ku NUP.
Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yayanirizza bammemba abapya era n’asaba abalala abaasangiddwa mu kibiina obutababoola kubanga buli muntu akola ky’asobola okuyamba okuzza eggwanga mu maaso abeera wa mugaso.
Yasuubizza bannakibiina abali wabweru wa Kampala abalwawo okumulaba nti babeere bagumu kubanga ekiseera kyonna ng’ekibiina bagenda kukola enteekateeka etalaaga eggwanga lyonna nga banyweza obuwagizi bw’ekibiina.