Amawulire

Lwaki  Lukwago atabudde ekibalo kya Besigye.

Ensonda  mu nkambi ya Besigye zikakasizza nti Lukwago yagaanye eby’okulekera Musumba nga yatandiise enteekateeka ne Ssemujju okutandika okuyiga obuwagizi bw’okutwala bukulembeze bw’ekibiina nga baatandikidde mu kitundu kya Buganda.

Bano wiiki ewdde baabadde mu Mitiyana nga baasisinkaye abakulembeze ba FDC n’abawagizi b’ekibiina ne babakubiriza okwewala okwenyigira mu bikolwa ebiswaza ekibiina kyabwe ng’obubbi , onufere nga kino kye kigenda okubayamba  okufuna obwesigwa bw’abantu babakwase obuyinza bw’eggwanga.

Ssemujju enkambi ya Besigye emuleeta kuvuganya ku bwasaabawandiisi bw’ekibiina nga bamativu nti Mafabi agenda kumeggebwa wadde enkambi  ye erina omusimbi oguwera, wadde nga balinamu okutya nti Ssemujju okubeera nga bonna ba ddiini emu era  bava mu kitundu ky’eggwanga  ky’ekimu kiyinza okukosa obuwagizi bwabwe  naddala mu bitundu ebirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top