Agebunayila

Ab’oluganda lw’abajaasi abaafiira e Somalia essuubi libawedemu.

Emyezi giweze ebiri bukyanga bajaasi ba UPDF balumbibwa abatujju ba Alshabab mu Somalia, wabula emirambo gyábajaasi abasoba mu 50 tejiwebwanga baluganda kuziikivwa.

Abajaasi bano baali baweerereza mu nteekateeka y’omukago gwa Africa ogugenderera okuzza emirembe mu Somalia  eya African Union Transition Mission in Somalia.

Obulumbaganyi buno bwaliwo ku nkomerero y’omwezi gwa May 2023, mu nkambi ye Bulo-Marer.

President Yoweri Kaguta Museven yategeeza eggwanga nti abajaasi ba UPDF 54 bebattibwa mu bulumbaganyi obwo.

Kigambibwa nti Abajaasi abamu baayokebwa bbomu nebasiriira, era Ab’oluganda lw’abagenzi bonna baggibwako endaga butonde okukusa abantu babwe abatuufu.

Wabula  ebbanga lino lyonna Family zino zaatuuka nókwesitula nebagenda mu Nkambi yámagye e Bombo nga bebuuza ekiremesezza okubawa emirambo gy’abantu babwe giziikibwe.

Muzeeyi Erias Ssebowa  owe Ssembabule agamba nti mutabani we yoomu ku  baafiira mu bulumbaganyi obwo, nti naye essuubi ligenda libagwamu olw’obutamanya kigenda mu maaso.

Amyuka omwogezi w’eggye lye ggwanga etya UPDF Deo Akiiki agambye nti ensonga zino zikyakolebwako wabula nga ziyita mu mitendera egikyali emiwanvuko.

Agambye nti abajaasi abattibwa bakyali mu mikono gya UPDF era n’asaba ab’oluganda okugira nga bagumiikiriza.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top